Amawulire
Aba DP mu Ssembabule bekubide enduulu
Abawagizi b’ekibiina kya Democratic Party mu disitulikiti ye Ssembabule bekubidde enduulu eri abakulira ekibiina kino ku njawukana eziyuzayuzizzamu ekibiina kyabwe.
Abawagizi bano kati bagamba bibasobedde tebamanyi wakuwagira olw’ebiwayi ebyeyongera okutondebwawo okuli ekya loodi meeya wa Kampala ekya Truth For Justice, ssaako n’abo abasimbiddwawo ekibiina kya DP ekikulu.
Omuwandiisi wa DP mu bitundu bya Ssembabule Matia Ssekidde ayagala olukiiko lw’ekibiina olufuzi okugenda e Sembabule batereze ensonga.
Wabula era Ssekidde agamba n’abekisinde kya Loodi meeya Erias Lukwago balina okugenda e Sembabule bwebaba balowooza manifesito yaabwe esobola okubatuusa ku buwanguzi.