Amawulire

Aba DP beyuzizza- Mao alumbye Lukwago

Aba DP beyuzizza- Mao alumbye Lukwago

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Ssenkaggale wa DP Norbert Mao aweze nga bw’azze n’enkuba empya egenda okutwala ekibiina mu maaso.

Norbert Mao abadde taliiwo okumala emyezi ebiri agamba nti wakutandikira ku kugolola ba memba ttumba abasiiwuuse empisa w’atabadde

Ono alayidde nti k’abe lubaale oba katonda , ttabamiruka w’ekibiina wakugenda mu maaso era nga tebajja kumwongezaayo

Yye eyesimbye ku Dr Lulume Bayiga asabye Mao alekulire mu bulungi asobole okuwangula obulungi

File Photo : Nobert Mao

File Photo : Nobert Mao

 

Yye ssabawandiisi wa DP avumiridde ba memba abasiiwuuse empisa nebekandagga okufuluma olukiiko nga ssenkaggale w’ekibiina eyogerako gyebali

Olunaku lwajjo, bannakibiina kya DP naddala abavubuka bayimuse nebava mu Lukiiko olwategekeddwa Norbert Mao mu Kampala era okuteesa ku nsonagz ‘ekibiina

Omukulu Mathius Nsubuga agambye nti buno bwabadde buyaaye era abakikoze basiwuufu

Nsubuga asabye abakulembeze abaggya okukulembeza okutereeza empisa za ba memba