Amawulire
Aba DP beralikirivu olwébbanja lya Uganda erigezze
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byóbufuzi ekya Democratic Party kilaze obwenyamivu kungeri ebbanja lya Uganda gye lyeyongedde okukula
Bano bagamba nti ensimbi Uganda zeyewola emitala wa mayanja ne mu banka za waka lisuse obwomulamuzi.
Okusinzira ku banka ya Uganda enkulu, mu mbalirira ye ggwanga eri mu bubage eyomwaka gwe byensimbi ogujja ebbanga lya Uganda lyakweyongera okutuuka ku busse 86.7 nga zino zikola ebitundu 52% kunsimbi eggwanga lye zirina.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wekibiina, Okoler Opio, agambye nti DP tewakanya kyakwewola wabula enkozesa embi eyensimbi ennewole
Ono agamba nti ensimbi ennewole zisaana okukola ensonga entuufu lwaki zewolebwa mu kifo kyokudda mu kuzibwebwena ate omugugu ogwokuzisasula ne kusigalira bannauganda abataziganyulwamu.