Amawulire

Aba DP bazize okulonda kwa meeya- Seya yesowoddeyo

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

seya

Ab’ekibiina kya DP nabo begasse ku ba FDC okuzira okulonda okuggya okwa loodimeeya.

Akulira ekibiina kino, Nobert Mao ategeezezza ng’okulonda kuno bwekulimu ekiiso ekibi era nga kugendereddwaamu kucankalanya mbeera ya byabufuzi.

Mao agamba nti bateekateeka okusisinkana ne bannamateeka ba loodimeeya Erias Lukwago okuteesa ku kiddirira

Ono agambye nti ebizibu ebiri mu KCCA bingi era nga byetaaga kukwatagana

Bbo abantu abagaala ekifo kya Loodimeeya bajja beesowolayo ng’eyakasemba ye yali meeya Nasser Ntege Ssebaggala.

Ssebaggala agamba nti alina buli kyetaagisa okukulembera ekibuga kubanga yali akikozeeko era asobola

Aba NRM eddusu baliwanze ku Peter Ssematimba agenda okukwata bendera yaabwe