Amawulire

Aba DP bavumiridde obugayaavu bwa Gavt mu kulwanyisa obutemu bwémmundu

Aba DP bavumiridde obugayaavu bwa Gavt mu kulwanyisa obutemu bwémmundu

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyébyobufuzi ekya Democratic Party-DP kyennyamivu olwa gavumenti okulemererwa okukomya ettemu ly’emmundu eryeyongera mu ggwanga wadde nga embalirira ye byensimbi mu kitongole kye byokwerinda ewerera ddala.

Kino kiddiridde ettemu ery’emmundu eryakolebwa minisita ow’abakozi, Charles Engola, ne kanyumiza ku mikutu gyomutimbagano Ibrahim Tusubira aka Jjaja Ichuli mu bitundu Kyanja mu Kampala .

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti wa DP Women League, Aisha Waligo, ategeezezza nti ekitongole ky’eby’okwerinda kye kisinga mu bitongole ebirala ebikulu ebifuna ensimbi ennyingi mu mbalirira ya buli mwaka gw’ebyensimbi.

Asabye gavumenti ekozese ezigiweebwa mu byókwerinda okunyweza obukuumi bwa bannansi n’okukuuma ebintu byabwe.

Ono era asabye gavumenti okukola okulondoola emmundu zonna eziri mu Uganda nókumanya baani abazirina bweba yakulwanyisa obutemu bwemmundu.