Amawulire

Aba DP bategese ebikujjuko ebyókujjukira Ben Kiwanuka

Aba DP bategese ebikujjuko ebyókujjukira Ben Kiwanuka

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kirangiridde ebikujjuko ebyenjawulo mu kujjukira eyali senkagale wékibiina omugenzi Bendicto Kiwanuka.

Olunaku lwenkya lwegiwera emyaka 49 bukya Ben Kiwanuka attemulwa

Nga yanafa Kiwanuka yaliko Senkagale wekibiina kya DP owomulundi ogwokusatu, yaliko ssabaminisita ne ssabalamuzi.

Ono ajjukirwa nyo mu kwagala abaana beggwanga okusoma nga yagaba sikaala 300 eri abayizi abatesobola, nakola nyo okulaba nti Uganda efuna obwetwaze ne birala

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda agambye nti olunaku lwenkya wakubaao okusabira omyoyo gwomugenzi e Bukomansimbi era nga bakutegeka ne misomo mu kumujjukira okuyita mu mwezi guno gwonna.

Ono asabye gavt okubaawo byeyigira ku mugenzi naddala mu byobukulembeze.