Amawulire

Aba DP basabye Gavt okutwala okulabula kwa Bungereza ku Butujju ngékikulu

Aba DP basabye Gavt okutwala okulabula kwa Bungereza ku Butujju ngékikulu

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party (DP) kisabye gavumenti obutatwala kulabula kw’obutujju okwakolebwa gavumenti ya Bungereza gye buvuddeko ngólubalaato.

Ku ntandikwa ya wiiki eno, Bungereza yalagula nti obulumbaganyi buno buyinza okuba nga tebusosola oba nga bugendereddwamu bannansi b’amawanga amalala oba ebifo ebyólukale omuli abantu abangi wabula tebasobola kumanya kibinja ki eky’abatujju ekiyinza okuba emabega w’obulumbaganyi buno obuteeberezebwa okukolebwa ku Uganda.

Omumyuka w’omukulembeze w’ekibiina kya Democratic Party, Fred Denis Mukasa Mbidde, agamba nti gavumenti yandibadde ekwatira ddala okulabula kuno era etandike okuteekateeka nga bukyali okukuuma bannansi baayo.

Yasabye poliisi okuzaawo enkolagana yaayo nábantu okuyamba ab’ebyokwerinda okufuna amawulire mu budde singa wabaawo ekintu kyonna ekiteeberezebwa.

Mungeri yeemu Mbidde alabudde Bannayuganda okufaayo ku bukuumi bwabwe nga bakola byonna ebyetaagisa okutangira ebikolwa by’obutujju.

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Kahiinda Otafiire yategeezezza eggulo nti gavumenti yamanya dda ku bulumbaganyi abatujju bwebategeka okukola  ne Bungereza nga tennafulumya kulabula kwayo.

Yagambye nti okulabula kw’obutujju okwafulumiziddwa gavumenti ya Bungereza kwakakasabukakasa amawulire ebitongole bya gavumenti ebikessi byegafuna edda era nti ebitongole by’ebyokwerinda byakola dda kyonna ekisoboka okukuuma bannansi.

Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde, gavumenti ya Amerika yafulumya okulabula okufaananako bwe kutyo ng’ebula ennaku ntono abayeekera ba Allied Defence Forces (ADF) balumbe essomero lya Mpondwe Lhubiriha Secondary School mu Disitulikiti y’e Kasese mwebattira abantu abasoba mu 40.