Amawulire

Aba DP basabye Gavt okunonyereza ku bulyake obwetobese munsimbi Zé Emyooga

Aba DP basabye Gavt okunonyereza ku bulyake obwetobese munsimbi Zé Emyooga

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kisabye palamenti okunoonyereza ku nguzi ekolebwa mu kuddukanya ensimbi zémyooga.

Kino kiddiridde amawulire okufuluma ku bigambibwa nti minisita avunanyizibwa ku micro finance, Haruna Kasolo yakozesa bubi ssente ze Emyooga ezisoba mu buwumbi bubiri. Kigambibwa nti ssente zino yazikozesa okutegeka embaga ye ey’obuwumbi bubiri.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Young Democrats, Ismael Kirya, avumiridde ekikolwa kino ekyokudanga kunsimbi zómuwi womusolo ne ziriibwa abantu abólubatu

Asabye gavumenti obutatunulira Minisita Kasolo yekka wabula ekole n’okunoonyereza okujjuvu mu bakungu bonna abagambibwa okuba abalyake.

Ategeezezza nti bingi ebigenda mu maaso munsimbi eziweebwayo gavumenti okukulakulanya abantu ng’abakungu omuli abawandiisi abenkalakalira nábakulira abakozi mu minisitule ye byensimbi n’abalala bazze baloopebwa nga bakozesa obuyinza bwabwe ne beewa ssente eziba zirina okuyamba abantu abaavu.

Bwatyo Kirya asabye palamenti nekaliisoliiso wa gavumenti okukola okubuuliriza ku nsonga eno mu ngeri ey’obwegendereza olwo bonna abalowoozebwa okwenyigira mu bulyake bakwatibwe bavunanibwe.