Amawulire

Aba-DP basabye ekitongole ekiramuzi ku misango gyóbulyake

Aba-DP basabye ekitongole ekiramuzi ku misango gyóbulyake

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party, kisiimye ekitongole ekiramuzi ne poliisi olwókuvaayo okukwata ku abakungu ba gavumenti abagambibwa okubba amabaati ga bakaramoja ne bagakozesa ebyabwe.

Poliisi yakakwata baminisita babiri ku byekuusa ku mabaati gano okuli minisita we nsonga zé Karamoja Mary Gorreti Kitutu ne Amos Lugoloobi, avuanyizibwa ku kutekerateekera eggwanga era baakwalibwa mu kkooti emisango ne gitandika okuwulirwa oluvannyuma lw’ebigambibwa nti bakyusa obuyambi bwa gavumenti omuli amabaati  n’embuzi ebyali birina okugenda e Karamoja nababyegabanya.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina, mu Kampala, pulezidenti w’ekiwayi mu DP ekya Uganda Young Democrats, Ismael Kirya, agambye nti ebitongole bino byombi bikoze bulungi okutuusa obwenkanya wabula nasaba ekitongole ekiramuzi okugonjoola n’emivuyo emirala  egy’obuli bw’enguzi egitaggwa omuli ssente za Temangalo, eza Gavi, ne za-Chogm n’endala.

Mungeri y’emu Kirya asabye pulezidenti Museveni obutayingirira kunoonyereza kugenda mu maaso ku baminisita be ababba amabaati bwekiba nti ayagala obuli bwenguzi okugwawo.