Amawulire

Aba DP banaatula ku mivuyo mu kulonda

Aba DP banaatula ku mivuyo mu kulonda

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

File Photo :Bana kibiina kya Dp

File Photo :Bana kibiina kya Dp

Olukiiko lw’abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo lwakutuula olunaku olwenkya okutunula mu kwemulugunya kwonna okwabadde mu kulonda kw’obukulembeze bw’ekibiina obw’emitendera egyawansi.

Nga ayogerako eri bannamawulire ku kiteba kya DP , omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakanda ategezezza nga ensisinkano eno bw;egenda okubeera wali ku Pope Paul Memorial Community Center nga era yakukozesebwa okwetegekera ttabamiruka w’ekibiina.

Kakanda agamba ttabamiruka w’ekibiina wakutegekebwa nga July 23  nga wakukozesebwa nga akabonero k’obwegassi mu kibiina sso ssi kwawula mu bannakibiina.

Mungeri yeemu abesimbyewo ku bwassenkaggale bw’ekibiina okuli ssenkaggale aliko kati Nobert Mao ne  Dr Lulume Bayiga; basuubirwa okugyayo foomu z’okwesimbawo ku kifo kino olunaku lwaleero nga tebanatandika kampeyini.