Amawulire

Aba DP bambalidde Chameleon bamuyise ‘Nakigwanyizi’

Aba DP bambalidde Chameleon bamuyise ‘Nakigwanyizi’

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze bekibiina kya DP e Mukono bavuddemu omwasi bagamba nti omukunzi wekibiina Joseph Mayanja amanyiddwa nga Joze Chameleon asaanye okubonerezebwa olwokutagala mu bibiina byobufuzi.

Chameleon yali mu DP nebamuwa ekifo kino, akungire ekibiina obuwagizi, wbaua teyabandalaayo nagenda mu NUP navuganya neku kaada yekibiina naye nebamuwangula bweyali agenda mu kalulu kobwa Lord Mayor wa Kampala.

Kati omwogezi wa DP mu munisipaali ye Mukono Frederick Kalungi asabye ekitebe ky’ekibiina okuvaayo ku nsonga zoono.

Kino kyadiridde nate Chameleon okutegeeeza nga bwatavangako mu NRM, bweyabadde akwasibwa mmotoka etunula ngomuntu kika kya Range Rover.