Amawulire

Aba DP balabudde ku Muyaga ogw’okusatu ogwékirwadde kya Covid-19

Aba DP balabudde ku Muyaga ogw’okusatu ogwékirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kirabudde ku muyaga ogwokusatu ogwekirwadde ekya Covid-19 singa gavumenti tevaayo bunnambiro ne okuteekawo enkola eziyinza okutangira ekirwadde okweyongera.

Mu ssabiiti ewedde minisitule eye byobulamu yategeeza nga emisinde ekirwadde kwekitambulira bwegyasala okuva ku bitundu 22-8%, songa nomuwendo gwabafa ekirwadde kino gwakendeera olwennaku 42 ezomuggalo ezalangirirwa omukulembeze weggwanga.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku yafeessi zékibiina mu Kampala, omwogezi wékibiina kya DP, Okoler Opio, alaze obutali bumativu kungeri omukulembeze weggwanga gyeyagyewo omuggalo awatali nkola yonna eteredwawo egenda okukuumira emiwendo gwabalwadde ba covid obutongera kulinnya.

Agambye nti mu bwangu gavt yakuwalirizibwa okudamu okulangirira omuggalo olwomuwendo gwa balwadde ogugenda okudamu okulinya olwobutabawo nteekateeka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *