Amawulire

Aba DP bakukyuusa mu ssemateeka

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Dp egumire

Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya  Democratic Party kyagala kukyusa mu ssemateeka kino okulaba nga begatta n’ebibiina ebirala okusimbawo omuntu omu mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga mu 2016.

Kino kyakukolebwa mu lukiiko lw’ekibiina kino olwokuntikko olugenda okubeera e Masaka olunaku olwenkya.

Ekibiina kino era kyakutunula mu nsonga y’okwawula ssenkagale w’ekibiina n’abakwatira bendera mu kulonda.

Ssentebe w’ekibiina kya DP mu ggwanga Mohammed Baswale Kezaala agamba amateeka g’ekibiina agaliwo tegabakkiriza kukwatagana nabibiina birala kusimbawo  omuntu omu okujjako nga ava mu kibiina kya DP.

Mu mwaka gwa  2011 ab’oludda oluvuganya gavumenti baali baagala kusimbawo Muntu omu wabula aba DP nebagaana era nebasimbawo ssenkagale w’ekibiina kyabwe Norbert Mao eyakunganya obululu 1.9% bwokka sso nga Pulezidenti Museveni y’akunganya 69%.