Amawulire
Aba DP bagala Ssabasumba asigale mu bijjukizo bye ggwanga
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kisabye gavumenti etekewo ebijjukizo ebikwata kwabadde ssabasumba we ssaza ekkulu erya kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyavudde mu bulamu bwensi eno ku lwobuwereza bwe obulungi eri eggwanga.
Ssabasumba Lwanga yassa ogwenkomerero ku lwomukaaga lwa ssabiiti ewedde yafiira mu buriri bwe.
Okusinzira ku alipoota ya basawo yafudde kirwadde kya mutima emisiwa egirina okutwala omusaayi bwegyesiba
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio Lo Amanu, asabye gavumenti wakiri ssabasumba aggulwemu oluguudo mu kibuga wakati okujjukira emirimo gye