Amawulire

Aba DP bagala Museveni mu kwogerakwe ajje n’ekyókudamu ku biruma bannauganda

Aba DP bagala Museveni mu kwogerakwe ajje n’ekyókudamu ku biruma bannauganda

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti aba Democratic Party baagala Pulezidenti Museveni ayogereko eri eggwanga ku nsonga ez’amangu ezikosa eggwanga.

Pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Young Democrats, ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina kya DP, Ismael Kirya, ayagala Museveni akole ku mpeereza y’ebyobulamu n’ebyenjigiriza egenda esereba mu ggwanga buli kakadde wamu n’okubeerawo kwa UPDF mu Somalia n’ebirala.

Agamba nti Bannayuganda era baagala okuwulira lwaki enkola yábonna basoma yafuuka eky’okulondako eri abo abatasobola kusasula bisale mu masomero g’obwannannyini, lwaki okunoonya obujjanjabi mu malwaliro ga gavumenti kisigadde eri abo bokka abatasobola kusasula ssente za bifo bya bwannannyini ate n’embeera ey’ennaku ey’ebifo eby’obulamu n’amasomero ga gavumenti gyebirimu mu ggwanga.