Amawulire

Aba DP bagala Gavt eyongere okusomesa bannansi ku kwewala ebikolwa by’obutujju

Aba DP bagala Gavt eyongere okusomesa bannansi ku kwewala ebikolwa by’obutujju

Ivan Ssenabulya

November 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekyébyóbufuzi ekya Democratic Party kyagala gavumenti okwongera okusomesa bannauganda okuba kubwerinde mu kulwanyisa ebikolwa byóbutujju.

Aba DP bagamba nti abatujju tebasosola mu kukola ennumba zabwe nga abamu balirowooza nti abatujju bakuba mu kampala ekitali kituufu.

Era bano Bagala wabeewo enkolagana ennungi wakati wa bannauganda ne bitongole bye byokwerinda mu kukunganya amawulire agayinza okuyamba gavt mu kulwanyisa obutujju.

Bino byogeddwa omuwi wa magezi ku byamateeka mu kibiina kya DP Luyimbazi Nalukoola mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala.