Amawulire

Aba COSASE bakunyiza abakungu okuva mu kakiiko kébye’ttaka

Aba COSASE bakunyiza abakungu okuva mu kakiiko kébye’ttaka

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE bambalidde abakungu ku kakiiko kebyettaka aka Uganda Land Commission olwokwekobaana ne bannamateeka, mu buguzi obwekifere mu ttaka.

Akakiiko kano kanonyereza ku buwumbi 10 kigambbwa ezasasulwa abantu abanejawulo, nga kwaliko obuwumbi 2 nobukadde 300 eri Namuli Nantalia omutuuze we Kagadi ngono kigambibwa yali wampewo kubanga teyaliiyo.

Ssntebbe wakakiiko kano omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, agambye nti baazudde nga waaaliwo obufere nekigendererwa abantu ssekinoomu okwegagawaza.

Daniel Mugulusi, akolanga omuwandiisi wakakiiko aka Uganda land Commission, yegaanye byonna byebabadde babaneny.