Amawulire

Aba China batanudde okwekalakaasa

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

China demo

Ab’enganda z’abantu abafiira mu kabenje k’enyonyi ya Malaysia bagumbye ekitebe ky’eggwanga lya Malaysia mu kibuga ekikulu ekya Beijing nebatanula okwekalakaasa.

Kino kiddiridde ssabaminisita w’eggwanga lya Malaysia Najib Razak okutegeza nga ebifaananayi bya setilayiti bwebyalaze nga enyonyi eno bweyagudde munda mu ggwanga lya Australia mu liyanja lya Buyindi

China eyagala ebalage obukakafu kwesinziira okwogera bino.

Ggo abamawanga agabadde bayigga ebipapajjo by’enyonyi eyagwa gayimirizzaamu ku mirimu olw’embeera y’obudde embi.