Amawulire

Aba CAF bongezaayo empaka zékikopo kya Africa

Aba CAF bongezaayo empaka zékikopo kya Africa

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekidukanya omuzannyo gwomupiira mu Africa ki Confederation of African Football (CAF) kirangiridde enkyukakyuka mu nnaku z’omwezi ezókuzanyirako empaka za African Cup of Nations 2023.

Empaka zino ezigenda okutegekebwa Côte d’Ivoire zaali za kubeerawo wakati wa June ne July omwaka ogujja.

Wabula okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa pulezidenti wa CAF, Patrice Motsepe, empaka zino zaakuzannyibwa wakati wa January ne February 2024.

Agambye nti empaka zino zibadde zikandalirizibwa olw’embeera y’obudde embi mu Ivory Coast ng’enkuba esuubirwa okutonnya wakati wa June ne July.

Laawundi bbiri ez’okusunsulamu amawanga aganetaba mu mpaka zino zibadde zaazannyibwa dda.