Amawulire

Aba Boda Boda tebalina kusukka ssaawa 6 eze’kiro

Aba Boda Boda tebalina kusukka ssaawa 6 eze’kiro

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Police mu district ye Luuka eweza  boda boda okutambulanga mu budde obwekiro.

Omuddumizi wa poliisi mu district eno, Mukonno Mwine agambye nti mu kiragiro kino, bagala kulwanyisa butemu obukolebwa ku bagoba, ba pikipiki zino.

Ategezeza nti tewali gwebagenda kukiriza kuvuga pikipiki okusukka essaawa 6 ezekiro.

Mwine era ategezeza nti abamu kuba pikipiki abavuga emu matumbi budde bandibanga benyigira mu bumwenyi bwamateeka.

Mungeri yeemu ekiragiro kigenda kukola neku bamabaala nabebibanda, nga batereddwako ekkomo, tebalina kusukka ssaaawa 6.