Amawulire

Aba Boda Boda e Masaka bagenda kuwandisibwa

Aba Boda Boda e Masaka bagenda kuwandisibwa

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abakulembeze b’abagoba ba Boda Boda mu kibuga Masaka bayisizza ebiragiro ebikakali ebirina okugobererwa banaabwe bwebali mu mulimu guno.

Ebiragiro bino nga bigendereddwamu okumalawo ettemu n’obubbi bwa piki ebikudde ejjembe mu kitundu kino.

Ebimu ku biragiro ebiyisiddwa kuliko okwewandiisa, obutavuga pikipiki kutali nnamba, abatalina stage okwabulira ekibuga n’ebirala.

Okusinziira ku bebyokwerinda, ngebijambiya byakaggwa, waabalukawo entemu empya mu kibuga ku bagoba ba Boda Boda nga mu bbanga lya sabiiti 2, aba BodaBoda 3 okuli Mawanda Huzaifah, Mukasa Joseph ne Kayondo Emmanuel bebatiddwa.

Ssentebe wa Boda Boda e Masaka Abdallah Ssenabulya ategeezezza nga bwebasazeewo buli mugoba wa Boda okuwandikibwa afune kaadi.

Abagoba ba Boda abeetabye mu nsisinkano ebaddewo, bagamba nti ebikolwa by’obubbi bwa byandiba nga bikyagenda mu maaso olwabo abakwatibwa ate nebabayimbula nebalya butaala.

Omuduumizi wa poliisi e Masaka Paul Nkore ategezezza nga bwewaliwo abantu abawerako bebakutte era okunonyereza kugenda mu maaso, ku butemu nobubbi bwa pikipiki.