Amawulire

Aba ANT sibakuwagira Mayambala okutwala omusango gwa Kyagulanyi

Aba ANT sibakuwagira Mayambala okutwala omusango gwa Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyakulira tiimu eyanonya akalulu ka Gen Mugisha Muntu, owa Alliance for National Transformation omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza, agamba nti bbo tebasobola kuwagira Willy Mayambala okutwala omusango gwe byokulonda ogwaloopya munna NUP Robert Kyagulanyi.

Kino kidiridde Mayambala okulaga obwagazi bwokutwala omusango guno oluvanyuma lwa Kyagulanyi okubigyamu enta nga agamba nti tasuubira bwenkanya kuva mu kkooti.

Kiizza yewunya wa Mayambla wagenda okugya obujjulizi okutwala omusango guno nga ne Kyagulanyi yalemesebwa okuteekayo obujjulizi obupya bweyalina mu musango guno.

Ono agamba nti aba ANT bawagira Kyagulanyi mu musango guno era bweyasalawo okugugyayo baali mabegawe kuba bakiraba nti tewali kye bagenda kufuna mu kkooti.