Amawulire

3 ku baakubiddwa laddu bali ku ssaala

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

 

ligthening

Basatu ku bayizi abakubiddwa laddu e Bushenyi bali mu mbeera mbi nga era ssaala zokka.

Olunaku olw’eggulo abayizi 8 aba Buramba Primary School e Bushenyi- Iskhaka  bafiiriddewo oluvanyuma lwokukubwa laddu.

Bbo 17 baatwaliddwa mu ddwaliro lya Kampala International University Teaching Hospital okwabadde n’omusomesa waabwe nga bali bubi kati 3 kubano bali ku ssaala yenyini.

 

Okusinziira ku akulira essomero lino Peace Kyobutungi, laddu weyakubidde abaana bano baabadde mu kibiina nga basoma ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo.

Agamba enteekateeka z’okusabira emyoyo gy’abagenzi zigenda maaso ku kitebe kya disitulikiti.