Amawulire

3 bakwatiddwa olw’okubba emifaliso mu ssomero

3 bakwatiddwa olw’okubba emifaliso mu ssomero

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Mu kaseera ngamasomero gakyali maggale, mu disitulikiti ye Napak abasajja 3 bakwatiddwa nemifaliso 58 nekeesi zabayizi 10 byebabadde babbye okuva ku ssomero lya Kapuat P/S.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Mike Longole agambye nti omusngo gwobubbi gwalopeddwa omukulu wessomero lino James Ocen.

Wabula ebintu bino babadde bamaze okubitunda mu bantu, buli mufaliso emitwalo 2.

Abamu ku babade baguze emifaliso bajikomezaawo 17, naye poliisi egamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *