Amawulire

Beekalakaasizza lwa bbaluti

Beekalakaasizza lwa bbaluti

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

File Photo: Okusima amayinja

File Photo: Okusima amayinja

Abatuuze ku kyaalo Magala ekisangibwa mu gombolola ye Nazigo e Kayunga  beekalakaasizza  olw’abakulembeze baabwe okwesulirayo ogwanagamba nga baluti za ba China zigenda mumaaso n’okuboononera ebintu byaabwe.

Abatuuze bano ababadde basoba mu 100 beekugaanyiza nebagumba mu luguudo lwe Kasana nebalusuulamu agayinja n’enkonge, ekiremesezza emotoka okutambula okumala akabanga okutuuka poliisi ye Kayunga bw’ezze mu bwangu n’ebagumbulula.

Bano ababadde abanyikaavu eby’ensuso bagambye nti bakooye okukaaaba olutata nga kampuni okuli eya China International Water and Electric Corporation ezimba ddaamu ya Isimba ku kyaalo Nampaanyi mu ggombolola lye Busaana neeya SBI ezimba oluguudo lwa Mukono- Kayunga-Njeru-Jinja bwezigenda mu maaso n’okwaasa  amayinja ku nsozi olwo bbaluti zaabwe nezikola enjatika ez’obulabe mu nyumba zaabwe kko n’okusowola amawako g’ebisolo awamu nebakyala baabwe okuvaamu embuto.

Adduumira poliisi mu disitulikiti ye Kayunga Noer Tweshiimye ng’ali wamu n’akulira abakozi mu kkampuni  ya SBI Osapa Karumaana bakubye olukiiko amangu ddala nga poliisi yakamala okukkakkanya abatuuze,nebategeeza nti ensonga zino baakuzikolako mu bwangu,yadde abatuuze basigadde bawera okuddamu singa tebaayambibwa.