Amawulire

Akakiiko akalondesa keefulidde Mbabazi- tetukuwanga ku lukusa

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Buli lukya okusika omuguwa kweyongera ku ky’eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga.

Kati akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng. Badru Kiggundu agambye nti tawangaka lukusa Mbabazi okugenda okwebuuza ku bantu.

Bw’abadde ayogerera mu lukiiko lw’ebibiina by’ebyobufuzi ebyenjawulo e Hoima, Kiggundu agambye nti ebbaluwa Mbabazi gyeyawandikira akakiiko ky’ebyokulonda yalimu ebirumira bingi kale nga yali tasobola kukirizibwa.

Kiggundu agambye nti Mbabazi yeweebwa amagezi okusooka okufuna olukusa okuva eri ekibiina kya NRM nga tannaba kutambula kugenda mu bantu.

Bwabuuziddwa lwaki ebifananyi bya Pulezidenti bigenda mu maaso n’okutimbibwa ate nga ebya Mbabazi bigaanibwa, Kiggundu agambye nti yamaze okuwandikra abakulira ekibiina kya NRM, okujjayo ebipande bino.