Amawulire

Poliisi ekyayiiriddwa ku nsalo

Poliisi ekyayiiriddwa ku nsalo

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Poliisi ekyayiriddwa ku nsalo eyawula Uganda ne Congo mu kitundu kye Vura mu disitulikiti ya Arua ekikaayanirwa Uganda ne congo.

File Photo: Kaihura nga ayogeera

File Photo: Kaihura nga ayogeera

Kino kigendereddwamu kutangira bannayuganda abaagala okuwoolera eggwanga oluvanyuma lw’aba Congo okuziba ensalo eno.

Aba Congo baayongezzayo ensalo yaabwe mu kitundu kino mita nga 300 mu Uganda nga bagamba nti baagala kuzimbawo kibangirizi mmotoka wezisimba.

Enjuuyi zombi zaalemereddwa okukkaanya ku nsonga eno nga era basuubirwa okuddamu okutuula okugonjoola ensonga eno.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba baasindise dda abaserikale baabwe mu kitundu kino nga enteseganya bwezigenda mu maaso.

Okusinziira ku ndagaano ye  Ngurodoto eyateekebwako omukono omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni n’owa Congo  Joseph Kabila, okulamba ensalo okulina okukolebwa ekibiina ekigatta amawanga ga Africa tekunakolebwa.

 

Mu ngeeri yeemu abasuubuzi bannayuganda bakyafiirwa byansuso olw’ebyamaguzi byaabwe okukwatibwa ku nsalo eno kati wiiki bbiri.

Omu ku basuubuzi abakoseddwa ategerekese nga Ssuuna agamba buli lukya ebyamaguzi byabwe bigwa akatale nga n’ebyononeka amangu bivunze kale nga kubonabona kwokka.