Amawulire

Embeera ezze mu nteeko e Bwebajja

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

 

nn

Kyaddaaki  e Bwebajja abantu batandisse okudda mu maka gaabwe.

Kino  kidiridde ekibinja ky’abatamanyangamba okulumba  nebatematema abantu ku byalo bibiri okuli Bwebajja ne Dewe wiiki ewedde.

Kinajukirwa nti  abanyazi abaalina     n’amajambiya baalumba ebyalo bino nebatematema abantu abasukka mu 30, era nga mukaseera kano omuntu omu yeyakafa , sso nga abalala abakyali mu malwaliro.

Ssentebe w’ekyalo ekya KKB Daniel kyewalyanga agambye nti okunoonyereza,mukaseera kano kukyagenda mumaaso, wabula nga mpaawo yaakwatidwa.