Alipoota

Babatutte mu kkooti

Ali Mivule

October 22nd, 2013

No comments

mukono woman

Waliwo ekibiina  ky’obwanakyewa ekisazeewo okuwawalawala govt okutuka  mu mbuga za mateeka, nga eno bagiranga kuviirako kufa kw’omukyala eyabadde agenda okuzaala.

Florence Nakamya kakano omugenzi ,yafa ku lunaku lwa Sunday, nga kigambibwa nti ono yalemererwa okusonda ensimbi ezaali ez’okumukolako mu kuzaala .

Kati getufunye gooleka nga ekibiina ekya Center for Health, Human Rights and Development bwekisazeewo okutwaala gavumenti  mu mbuga za mateeka , nga bagiranga kulagajalira bulamu bwa muntu .

Moses Mulumba nga ono yakulira ekibiina kino , agamba nti okusinzira ku semateeka , ono yalina okufuna obujanjabi , kale nga bwali buvunanyizibwa bwa gavumenti okumukolako .