Amawulire
Banabyabufuzi abeewogoma okuwa omusolo bacoomeddwa
Bya Ssebuliba samuel
Banabyabufuzi mu uganda basabiddwa okukoma okwebuzabuza ku byokuwa omusolo, kyoka nebagulekera abaavu okugwetikka.
Bwabadde eyogerera ku mukolo ogw’okufulumya alipoota ekwata ku byenfuna bye gwanga nga eno yakoleddwa banka y’ensi yonna, omuwandiisi we nkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi agambye banabyabufuzi bangi bwekituuka ku musolo bayisa amateeka agabataatira, kyoka nga bafuna omusaala kisaagande ogwetaaga obutaleka kugenda bugenzi.
Kati ono asabye buli alina okuwa omusolo aguwe awatali kwebikirira, olwo nebanansi lwebagenda okukimanya nti fenna kitukwatako okuwa omusolo.