Amawulire
Balandiloodi baganye okuzimba zi kabuyonjo
Bya Steven Ariong
Ab’obuyinza mu municipaali ye Moroto mu disitulikiti ye Karamoja baleeta etteeka ekkakali okukwata ba landiloodi bonna abatalina zikabuyonjo.
Meeya wa municipaali eno Noah Ewaru ategezezza nti bazze balabula bananyini mayumba bano okusima obwamugwanya naye nga befuddle na nampulira zzibi nga abapangisa bambai bekuniza nga mafumbe.
Kati baakuteeka amakufulu ku nyumba zonna okutali buyumba bukyamirwamu kubanga abapangisa kati bamala gamansa mpitambi buli webasanze.
Ewaru agamba municipaali yaabwe baagala esuumusibwe efuuke ekibuga naye tekisoboka nga obukyafu bukyali mu kitundu kyabwe.
Okusinziira ku bibano bya municipaali, abantu 10% bokka bebalina zi kabuyonjo kale nga kikwasa ennaku.