Amawulire

Balandiloodi baganye okuzimba zi kabuyonjo

Ali Mivule

May 2nd, 2017

No comments

Bya Steven Ariong

Ab’obuyinza mu municipaali ye Moroto mu disitulikiti ye Karamoja baleeta etteeka ekkakali okukwata ba landiloodi bonna abatalina zikabuyonjo.

Meeya wa municipaali eno  Noah Ewaru  ategezezza nti bazze  balabula bananyini mayumba bano okusima obwamugwanya naye nga befuddle na nampulira zzibi nga abapangisa bambai bekuniza nga mafumbe.

Kati baakuteeka amakufulu ku nyumba zonna okutali buyumba bukyamirwamu kubanga abapangisa kati bamala gamansa mpitambi buli webasanze.

Ewaru agamba municipaali yaabwe baagala esuumusibwe efuuke ekibuga naye tekisoboka nga obukyafu bukyali mu kitundu kyabwe.

Okusinziira ku bibano bya municipaali, abantu 10% bokka bebalina zi kabuyonjo kale nga kikwasa ennaku.