Amawulire
Museveni akyaleebya abavuganya
Okunonyereza okuggya kulaze nga obuwagizi bwa pulezidenti Museveni bwebukendedde yadde nga akyakulembedde kati ali ku 51%
Okusinziira ku bakola okunonyereza mu nsi yonna aba Research World munna FDC Dr Kiiza Besigye ali mu kyakubiri n’ebitundu 32% sso nga Mbabazi kati ali ku 12%.
Dr Abed Bwanika ne Gen Benon Biraaro bebaddako n’ekitundu 1% .
Okunonyereza kuno kwakoleddwa wakati w’ennaku z’omwezi 15th Dec- ne 5th January mu disitulikiti 89 naddala ez’omukyalo.
Bano baayogedde n’abalonzi abewandiisa 2,685 nga era 51% bakyala sso nga 41 % baami.
Okusinga bamufuna mpola bebakozeeko okunonyereza kuno nga era 49% baagala nkyukakyuka mu bukulembeze sso nga 46 tebagyetaaga.
Akulira ekibiina kya Research World international Patrick Wakida ategezezza nga absinga bwebatekakasa ku nsonga y’okuwaayo obuyinza mu mirembe.
Wabula ye amyuka omwogezi wa NRM Ofwono Oponso ayambalidde abaakoze okunonyereza kuno n’ategeza nga bwebakyusizza ebyavudde mu kunonyereza kuno nga baagala bannayuganda balowooze nti wakubaawo okuddamu okulonda okwa vvunula bibya.
Opondo agamba bano tebetawanya, pulezidenti Museveni wakuwangula n’ebitundu 73% okusinziira ku bbo okunonyereza kwebakoze okwomunda.
Wabula ategezezza nga ebimu ku bili mu kunonyereza kuno bwebili ebituufu nga bbo nga aba NRM bakwetereza okulaba nga abavubuka bongera okubegattako n’abayivu.