Olwali
Omugoba w’enyonyia kata agikube ekigwo
Ng’abantu basimbula okutandika olugendo basooka kwekebera kulaba oba balina buli kyebetaaga Kakati omugoba w’enyonyi abadde yakasimbula n’alengera omuntu alina amagulu ana, kati enyonyi egikube ekigwo bw’atandise okukankana Wakati mu kwetegereza Muntu kika ki ono, bakizudde nti kkapa ebadde yalinnye enyonyi
Adduse buswa okuyita mu supamaketi
Waliwo omusajja eyeyambudde engoye neyeyiira amata olwo n’ayita mu supamaketi ekikumi nga yenna ajjolobadde Ono adduse awogganira waggulu nti omuliro gukutte. Akatambi kano akatwatiddwa mu Bungereza nga kalaga omusajja ono mu kikolwa katunda nga keeki eyokya ku yintaneeti
Ayoya ssabbuuni
Abakyala bayoya ebintu bingi nga bali mbuto nga n’ebimu byewunyisa Kati mu Bungereza, waliwo omukyala ali olubuto nga yye ayoya ssabbuuni Jess Gayford ow’emyaka 26 yatandikira ku kulya ssabuuni w’ebitole n’awoomerwa era okuva olwo tadda nga mabega .
Kkapa ebafuukidde ekyetere
Mu kibuga Stamford, waliwo abafumbo abaddukidde ku poliisi nebawaaba kkapa yaabwe lwakubalemesa kuyingira mu nyumba Okusinziira ku sitatimenti gyebakoledde ku poliis, kkapa eno eyimiridde mu mulyango nga buli lwebagezaako okuyingira ng’ezimba n’efuuwa Omusajja agambye nti mu kugezaako okugiyitako, emukwagudde ku kugulu n’emuluma nga y’ensonga lwaki […]
Owagganye mu kaboozi asibiddwa
Mu kibuga Birmingham, waliwo omukyala aggaliddwa lwakunyumirwa kaboozi n’awogganira na neyiba Gemma Wale ow’emyaka , 23 awereddwa ekibonerezo kya wiiki bbiri mu kkomera lwakuwogganira balala Omukyala ono awuliddwa ng’awoggana okusukka mu dakiika 10 olwo nebayita poliisi emuyodde
Blatter akunze ku bumu
Akulira ekibiina kya FIFA Sepp Blatter obubaka bwe bwetoololodde ku bumu ng’okulonda omukulembeze omuggya kugenda mu maaso. Okuonda kuno kujjidde wakati mu kunonyereza ku nguzi efumbekedde ekibiina kya FIFA nga waliwo n’abakwatibw agyebuvuddeko Blatter asuubirwa okulya ekisanja ky’okutaano asabye abantu okuba obumu okusobola okutwaala omuzannyo […]
enjaga mu bimuli
Abaddukanya ekibuga ekimanyiddwa nga Kazakh batandise okunonyereza ku njaga ebadde erimibwa mu bimuli by’ekibuga Abatuuze beebalabye ng’ebimuli bijimuse nga bijjuddemu njaga ng’ebadde ewunya n’okuwunya ku nguudo Abaddukanya ekibuga kino bagamba nti bagala akuzuula oba enjaga eno yalimwa mu butanwa oba mu bugenderevu
Ono kimuweddeko
Omukyala eyafiirwaako mwanyina ebigambo bimuweddeko bw’asanze omusajja omulala ng’alina feesi y’ey’omugenzi Richard Norris ow’ewaka 39 feesi ye kumpi yaggwaawo bweyekuba amasasi mu butanwa mu mwaka gwa 1997 kyokka n’aweebwa feesi endala ey’omusajja eyali afiiridde mu kabenje Omukyala ono olulengedde omusajja ono asoose kusooka kuwakana ng’alowooza […]
Abadde ayagala okufuuka omukazi afudde
Omusajja eyekubye eddagala ng’ayagala okumera amabeere yetabe mu mpaka z’obwa nalulungi afudde tafunye mu ntuuyo ze Juan Manuel Sanchez,ng’abadde yeeyita Bebo abadde ayagala kwetaba mu mpaka z’obwa nalulungi mu Mexico
Ayidde
Omusajja eyawalampye ekizimbe ng’ali bukunya, bamujjeeyo tamanyi kiri mu nsi oluvanyuma lw’ekyuuma okumwokya Omusajja ono tategedde nti abadde ayimiridde wakati w’ebyuuma era omukka gwebifulumya gumubabudde yenna Ekimututteyo nze naawe kyokka nga bibadde mu kibuga Florida