Ebyobusuubuzi

Okulongosa ekibugga kye`Mukono

Okulongosa ekibugga kye`Mukono

Bernard Kateregga

September 1st, 2015

No comments

Abakwasisa amateeka mu kibugga Mukono bakoze ekikwekweto mwebayoledde ebintu byabasubuzi abasangiddwa ku mabbali ge kkubo. Batandikidde mu kabuga ke Wantoni okuyita mu masekatti ga Mukono ppaka e Seeta. Bayodde ebipande ebibaddewo mu bukyamu nga tebisasula musolo, emmeeza zabatunda Chapati naba ttoninyira, abobusimu nabalala bakoseddwa mu […]

Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja

Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja

Bernard Kateregga

August 25th, 2015

No comments

Gavumenti ya Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja naddala mu district ye Kalangala nga omu ku Kaweefube gwetandise okuzza amaanyi mu byobuvubi awamu n’okulinyasa omuwendo gwebyenyanja ebijibwa munyanja Nalubaale nga bitundibwa ebweeru we gwanga. Ebyenyanja ebibadde bivubwa mu Nyanja eno bibadde bikeendede nnyo era nga abantu […]

Baddereva  mu paaka ye  Namayiba batisizza okwegungunga

Baddereva mu paaka ye Namayiba batisizza okwegungunga

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Baddereva ne bananyini motooka mu paaka ye Namayiba batisizza okwegugunga balagge obutali bumativu kungeri nannyini paaka eno gyabayisaamu. Banno bagamba nti tebakyafuna basabazze olwenkolla nnannyini paaka eno gyeyateekawo ebanyigirizza. Badereva bagamba kublui Mmotoka eya buyonjo ereeta omusabazze mu paaka bagyijaako 3000 songa pikipiki bagyisolooza 2000 […]

Abasuubuzi bakaaba

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Abasubuuzi abakolera e mu bitundu bye Nateete bakikidde ekitongole kya KCCA olw’okusengula emidaala gyabwe egyali gyisigadde mu kkubo nga tebawereddwa kiseera kimala. Bano okuli abatunda engoye,engatto ,amabaala n’ebirala bagamba nti baamenya ebizimbe byabwe kyokka nga tewali nakyebakolako wabula bbo nebasigala nga bakaaba. Twogeddeko n’abamu abakoseddwa […]

Mobilo mane wakutereezebwa

Mobilo mane wakutereezebwa

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Banka y’eggwanga etandise okubaga ku mateeka aganafuga entambuza ya mobayilo mane mu ggwanga. Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku bafere abayingidde enkola eno nga bamaze okunyagulula abawera Omukungu mu Banka y’eggwanga Charles Owinyi Okello agambye nti waliwo amateeka agaliwo agabayamba kyokka nga tegamala Okello agamba nti […]

Omusolo gukaabya abatunda omwenge

Omusolo gukaabya abatunda omwenge

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Omusolo ogwalinyisibwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno erabise ng’etandise okukosa abasuubuzi b’omwenge. Bino bibadde mu musomo ogubadde guwaniriddwa ekitongole kya Nile Breweries e Mubende okubangula abasuubuzi engeri gyebalina okuyisaamu bakasitoma baabwe Avunaanyizibwa ku by’ettunzi n’enkulaakulana ya Nile Breweries Ronald Mayanja agambye nti omwenge gwaabwe gavumenti […]

Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa

Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa

rmuyimba

July 31st, 2015

No comments

Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa okunasuula nemiti nga bemulugunya ku musolo omugya ogwabatekeddwako. Bagambye bakusitula ebikola byabwe ppaka ku parliament bagala yeeba eyingira mu nsonga. Omusolo guno gugenda kutandika okukola mu mwezi gwomunaana. Balayiriradde obutaddamu kukwata nkasi ssinga gavummenti teyekyusa. Bano okuva ku myalo […]

Essengejjero ly’amafuta lijja

Essengejjero ly’amafuta lijja

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Uganda eteekateeka kuzimba ssengejjero ly’amafuta mu myaka 3 nga eggwanga lyetegekera okutandika okufulumya amafuta mu 2018. Minisitule y’ebyamasanyalaze n’obugagga obukusike  era yakuteeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’amafuta eya Total okuva e Bufaransa ne Tullow Oil eya Bungereza nga betegekera okutandika okutunda ku mafuta gano […]

Ebyuma by’amata biggya

Ali Mivule

July 11th, 2015

No comments

Gavumenti egenda kutandika okuzimba ebyuuma ebinyongoza amata mu bukiikakkono bw’eggwanga. Kino kibikkuddwa minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obulunzi Bright Rwamirama bw’abadde ayogerako eri ababaka ba palamenti ku ngeri gavumenti gy’engenda okwongera ku bungi bw’amata. Rwamirama agambye nti bassaawo dda ebyuuma bino mu bugwanjuba wamu ne mu […]

Omwoleso gutandise

Omwoleso gutandise

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Omwoleso gw’ebyobulimi ogwomulundi 23 guggulawo olunaku olwaleero wali e Jinja. Akuliddemu enteekateeka eno  Peter Kisambira agamba ebyokwerinda binywezeddwa buli kimu okutambula obulungi. Mungeri yeemu abagenda okwetaba mu mwoleso guno bategezezza nga guno bweguli omukisa omunene okwolesa ebirime byabwe abantu bongere okubimanya n’okubigula.