Amawulire

Ab’omu kisenyi ssibakusengulwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimirizza eby’okusengula abantu ababeera n’okukolera mu kisenyi Bino bituukiddwaako mu Lukiiko wakati w’abakulembeze mu KCCA, amyuka omubaka wa pulezidenti mu kibuga ,Allan Kajik n’ababeera mu Kisenyi Akulira abakozi ku ggombolola y’omukulu w’ekibuga Catherine Musingwire agambye nti bakusooka kumalawo kusika […]

Uganda eweddemu ekirwadde kya Marburg

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Uganda eweddemu ekirwadde kyaMarburg. Minisita omubeezi akola ku byobulamu  Sarah Opendi y’alangiridde bwati mu lukiiko lwa bannamawulire olukubiddwa ku kitebe kya gavumenti ekya Mawulire ekya Media center. Opendi agambye nti obulwadde buno busobodde okubutaayiza era nga buwereddewo ddala Obulwadde buno kyalangirirwa nti bulumbye eggwanga nga 4 […]

Abawadde obutwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye   Bukomansimbi  eriko omukazi  ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.   Dativa Nabatanzi omutuuze we  Kagoggo y’awatiddwa  lwakulunga bulukuumi  mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya  Mukama Bwebutukirivu Bwaffe. Wiiki ewedde  abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka  nga bali […]

Amasanyalaze gasse omuzimbi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Omuntu omu akubiddwa amasanyalaze agamuttiddewo e Namugongo Omugenzi ategerekeseeko lya Kasozi omuzimbi. Amasanyalaze gano kigambibwa okuba nga gayungibwa omukyala ategerekese nga Caroline Natukunda nga gali ku kikomera okuliraana ekinaabiro Kasozi mw’abadde anaabira Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Natukunda akwatiddwa okunyonyola […]

Omulangira Ssimbwa aterekeddwa

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Nasiisi w’omuntu akungaanidde ku Masiro ke Kasubi okwetaba mu mikolo gy’okutereka Omulangira David Wasajja Ssimbwa Omulangira ono yasereera ssabbiiti ewedde Akedde kusabirwa ku lutikko e Namirembe gy’ayogeddwaamu ngomusajja enjasa biggu Omulangira wasajja y’abadde taata wa Kabaka Mutebi asigaddewo mu lubu lwa ssekabaka Chwa.

Abayizi bakubiddwa bbomu- 47 bafudde

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Abayizi 47 beebafudde omutujju bweyebalusirizzaako bbomu mu kibuga kya Nigeria Potiskum Bbomu eno ebalukidde ku ssomero ly’abalenzi erya sayansi era ng’omutujju agiteze abadde ayambadde ng’omuyizi Ab’akabinja ka Bokoharam kiteberezebwa okuba nti beebakoze obulumbaganyi buno yadde nga tebannakikakasa

KCCA tesobola kuwera mizigo

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Kampala capital city authority alabuddwa ku kuwera emizigo mu kibuga nga terina mulaani ngundiivu Omubaka we Ndorwa mu buvanjuba Wilfred Niwagaba agamba nti KCCA yendipapiriza okukola kino nga terina na w’eteeka bantu Niwagaba agamba nti n’amateeka genyini tegawera mizigo KCCA yalangiridde enteekateeka ewera muzigo gumu, […]

Omusuubuzi attiddwa

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku musuubuzi ayakubiddwa amasasi agaamusse Charles Lwanga  ng’emirimu abadde agikkakkalabiza ku kizimbe kya Mabirizi baamusse adda waka Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi yabadde atambula n’omukyala agambibwa okuba muganzi we kyokka nga yabuze amangu ddala […]

Akulira essomero abbidde

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa e Mijwala Sembabule, omukulembeze w’essomero bw’agudde mu kidiba ky’amazzi n’afiiriwo. Vincent Ssenganda  nga y’abadde akulira essomero lya Garden of Hope Secondary schoolabadde agenze kuwuga mu kidiba Maama w’omugenzi, Florence Mukambi nti yabadde agenze n’abayizi okukuba amataffaali kyokka n’asikirizibwa, kwekuwugamu. Omu ku batuuze Ahmed […]

Abayizi batandise ebigezo- awamu bitataaganye

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Abayizi bataano aba siniya y’omukaaga tebakoze bigezo ebitandise olwaleero Abayizi bano bonna nga bava mu ssomero lya Mbale secondary school tebalabiseeko nga kigambibwa okuba nti balwadde. Abasatu tebakoze kigezo kya Biology ate ababiri tebakoze kigezo kya Economics. Akulembeddemu okukuuma ebigezo, Bernard Nakisa agambye nti ategeezeddwa […]