Ebyobusuubuzi

Okutumbuula ebyo’busuubuzi mu gwanga

Okutumbuula ebyo’busuubuzi mu gwanga

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

Olukiiko oluvunanyizibwa okutumbula ebitundibwa ebweru w’eggwanga olwa Uganda export promotions board lutegezezza nga bwewetagisa okuteekawo ofiisi ezenjawulo mu bifo ebitali bimu ebitundibwa ebweru w’eggwanga bwebiba byakweyongera. Okusinziira ku biwandiiko by’ebintu ebyatundibwa ebweru w’eggwanga mu mwaka gwa 2014, Uganda yafunamu obuwumbi  bwa doola 2.6  mu 2015 […]

Abalwadde e Mukono balajanye

Abalwadde e Mukono balajanye

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

Abatuuze be Ntanzi mu gomboloola ye Ntenjeru district ye Mukono balajanidde gavumenti okuvaayo ebadukirire ku mbeera yebyo’bulamu embi mu kitundu. Bano bagamba balina endwadde ezenjawulo wabula eddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Kojja HC.IV tebabawa bujanjabi bwebetaaga. Bano okubadde nabakadde basangiddwa nga basinda bagamba abasawo […]

Emmotoka bazigobye ku masundiro g’amafuta

Emmotoka bazigobye ku masundiro g’amafuta

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

Poliisi ye Masaka eweze emmotoka zonna okutikkira, okusimba wamu  n’okutikkulira abasaabaze ku masundiro g’amafuta. Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka Wilfred Byamugisha y’awadde okulabula kuno n’ategeeza nga bwebafunye ebiragiro okuva ku kitebe kya poliisi e Kampala oluvanyuma lw’okulabulwa ku bikolwa by’ekitujju. Agamba baawandikidde dda abakulira amasundiro […]

Abaakoseddwa amataba babadukiridde

Abaakoseddwa amataba babadukiridde

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

Abatuuze be Kalungu abakoseddwa amataba kyaddaaki baddukiriddwa n’obuyambi bafune webegeka oluba. Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya basigala tebalina webegeka luba olw’amayumba gaabwe kumpi kubuliramu. Abatuuze abaasinze okukosebwa  kuliko abokumwalo gwe Kamuwunga n’abalala. Kati bano bawereddwa ebintu nga emmere omubadde ensawo z’akawunga, […]

Eyayiira mujjawe olweje bamusibye 2

Eyayiira mujjawe olweje bamusibye 2

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

E Mayuge omukazi ow’emyaka 29 asibiddwa emyaka 2 lwakuyiira mujjawe mazzi gookya. Omulamuzi Wilberforce Egesa y’asindise Aisha Nandawula mu kkomera lye Bufulubi lwattima. Omulamuzi agambye nti akalize omukazi ono ayige oba oli awo takiddangamu gyebuggya.

Kadaga akomyewo ku bwa sipiika

Kadaga akomyewo ku bwa sipiika

Bernard Kateregga

May 20th, 2016

No comments

Rebecca Kadaga azzemu okulondebwa ku bwa sipiika bwa palamenti eyekkumi  awatali amuvuganya. Oluvanyuma omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amukwasizza ddamula ya palamenti wakati mu nduulu okuva eri abawagizi be Omubaka Raphael Magyezi y’awaddeyo erinya lya Rebecca Kadaga nelisembebwa Cecilia Ogwal olwo Julius Mukasa Majegere n’awayo […]

Kkooti  egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi

Kkooti egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Kkooti ensukulumu egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi abategezezza nga okubibwa kw’ebiwandiiko byabwe mu ofiisi zaabwe ezamenyeddwa bwekibalemesezza okuwaayo obujulizi ku musango oguwakanya ebyava mu kulonda gwebaawaba. Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe bano abalabudde obutekwasa kyakumenya ofiisi zaabwe nga baagala okwongerwayo obudde okunonya obujulizi. Katureebe ategezezza nga […]

Abatembeeyi bakugoobwa mu kibuuga

Abatembeeyi bakugoobwa mu kibuuga

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Ekitongole kya KCCA  kikakasizza bananyini maduuka nga bwebagenda okugoba abatembeeyi bonna kunguudo mu bwangu. Omwogezi wa KCCA  Peter Kauju agamba baasindikidde dda abatembeyi bano amabaluwa agabalabula okwamuka enguudo zino.   Kauju agamba singa tebavako mu mirembe, abakwasisa amateeka bakubatwalaganya.

Ekirwadde kya Cholera kizzemu

Ekirwadde kya Cholera kizzemu

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Sironko nga tewanayita namyezi 2 nga kyekiggye kigoye abeeno. Kati abantu 3 bebakaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.   Ku ntandikwa y’omwaka guno cholera yazingako ebitundu bye Mbale ne Sironko nga era yatta abantu 10 n’abalala nebaweebwa ebitanda. […]

Abalwaniriizi be bembe bali wa Besigye

Abalwaniriizi be bembe bali wa Besigye

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Ab’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga kali mu nteekateeka zakukyalira eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Munna FDC Dr.Kizza Besigye wali e Kasangati.   Besigye akyasibiddwa mu maka ge okuva nga okulonda kwa nga February 18th kuwedde Poliisi ewera yakugenda mu maaso n’okukuumira Besigye eweuwe okutuusa nga […]