Amawulire

Kirumira akyanonyerezebwaako

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Kirumira arrested

Eyali akulira poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira ssi wakudda ku mulimu okutuusa ng’amaze okunonyerezebwaako.

Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Kirumira akyanonyerezebwaako era nga tekiba kituufu kumuleka ate ng’akola emirimu.

Ebigambo bya Kaihura biddiridde okwemulugunya okuva eri omubaka Joseph SSewungu ku kya Kirumira obutava mu mawulire ate nga yawummuzibwa.

Kaihura agamba nti Kirumira yasalawo entalo ze kuzitwaala mu bannamawulire mu kifo ky’okwebuuza ku bakama be

Kirumira yawummuzibwa oluvanyuma lw’ebigambibwa nti yezibika ekyoja mumiro kya mitwaalo abiri nga ziyita mu mobile mane.