Amawulire
Ebye Kasokoso tebinaggwa
Okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ettaka lye Kasokoso mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’ettaka n’okuzimba kugudde butaka.
Kino kiddiridde okubalukawo obutakkaanya mu kakiiko kano, oluvanyuma lw’abamu ku bakiise okuyita abatuuze mu Acholi Quarters nabo okulabikako mu kakiiko kano.
Wabula oluvanyuma basazeewo nti buli zooni mu kitundu kye Kasokoso esindike abantu 5 mu kakiiko kano ku lwokubiri lwa wiiki ejja.