Amawulire

Museveni agadde Amasomero nawa n’ebiragiro ebirala

Museveni agadde Amasomero nawa n’ebiragiro ebirala

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni mu kawefube w’okutangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ekiranda ngoluyiira aliko ebiragiro ebippya byalanagiridde.

Bino webijidde ng’emiwendo gyabalwadde nabafa gigenze egirinnya buli lunnaku olukedde.

Ku lunnaku lwa Sunday abalwadde abappya 1,200 bebafunise ngabasinga ku bano bavubuka.

Kino omukulembeze we’gwanga akinyezza ku bannaUganda abalagajjala, ebyogoberera amateeka nebiragiro ku bulwadde nebabivaako.

Mu kwogera kwe olunnaku olweggulo, omukulembeze we’gwanga alagidde amasomero gonna gagalewo ku itendera gyonna okutuuka kuzi univasite.

Kino kitandise okukola amakya ga leero, waddenga abamu babadde bagenda mu maaso nokukola ebigezo.

Amasomero namatendekero ga waggulu gagenda kuggalwa okumala ennaku 42, era bweganaaba gakuddamu abasomesa bonna bajja kusooka kugemebwa.

Agambye nti abategemese tebagenda kuddamu kusomesa.

Bino webijidde ngabayizi abamu babadde bagenda kuddayo buzzi okuli abalai mu bibiina ebidirirra ebisemba, aba P1 okutuuka mu P3.

Kati okusobol okusabaza abayizi okubazza awaka, omukulembeze we’gwanga agambye nti takisi zikirizddwa okukola okutukka nga 10 June, oluvanyuma zijja kukolera munda mu disitulikiti zaazo nga tezisala kudda mu disitulikiti ndala.

Kino nakyo kigenda kukola okumala ennaku 42, atenga mu mbeera yeemu namasinzizo gagadde.

Emmotoka ezisabaza ebyamaguzi zigenda kusigala nga zikola, wabula zitekeddwa okuberamu abantu 2 bokka era zzo zaakukirizibwa okutambula okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala.

Omukulembeze we’gwanga ayongedde okukakasa nti bagenda kulwanyisa obumenyi bwamateeka bwonna.

Alangiridde nti abasirikale bonna ab’okunguudo bagenda kuweebwa emmundu okusobola okukwata obulungi abanamenyia ebiragiro.

Kino wabula tayogedde kigenda kutandika ddi okukola.

Kati mungeri yeemu, alagidde akulira ekitongole kyabambega, Grace Akullo okunyonyola egwanga okunonyereza kwabwe wekutuuse ku butemu obwenjawulo obuzze bukolebwa ku bantu abagundiivu mu gwanga.

Wano yabadde yemulugunya kuba Daily Monito, bweyagamabye nti bawandiiko obulimba nti okunonyereza okukolebwa tekuggwa.

Mu biralala, enkungaana zonna okuli emikolo, embaga nebiralala byakugenda mu maaso wabula nga kuliko abantu batono ddala, era okumala ennaku 42.

Abanatu amakumi 20 bokka bebajja okukirizibwa.

Ggo amasiga ga gavumenti amalala, gakusigala nga gatuula okuli, olukiiko lwaba minisita, palamenti ne’ssiga eddamuzi.

Bwo obudde bwa kafwi bwasigadde ku ssaawa 3 ez’ekiro okutuukira ddala ku 11 nekitundu ngobudde bukya atenga boda boda zitekeddwa okukoma okukola ku ssaawa 12, akawungeezi.

Ebiralala n’obutale bwonna bayimiriziddwa, atenga abanamenya ebiragiro agambye nti baakuwa engasi.