Amawulire

EALA bakungubagidde omubaka Mathias Kasamba

EALA bakungubagidde omubaka Mathias Kasamba

Ivan Ssenabulya

April 29th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ababaka mu palamenti y’obuvanjuba bwa Africa, the East African Legislative Assembly bakungubagidde munaabwe Mathias Kasamba mukama gweyjuludde okuva mu buamu bwensi.

Ababaka bagambye nti Kasamba abadde mukozi ate omuteesa omulungi ngabadde ayagala watondebwewo ekitongole ekyongodde okulondoola emirimu gyenkulakulana mu mukago gwa EAC.

Obubaka buno, omukubiriza wa EALA Martin Ngoga abuyisizza ku tweeter okukungubagira Kasamba.

Kasamba yalondebwa okukiika mu palamenti ya EALA eyomulundi ogwokuna, ngabadde ku kisanja wakati wa 2017 ne 2022.

Omugenzi agenda kuzikibwa olunnaku olwenkya.

Kino kikaksiddwa omuwanika wkeibiina kya NRM Rose Namayanja Nsereko bwebabadde batudde, ngakakaiiko akawereddwa obuvunayizbwa okutegeka okuziika.

Bano batudde ku Pope Paul e Rubaga, Namayanja agambye nti omugenzi agenda kuzikibwa mu maka ge ku kyalo Katovu mu disitulikiti ye Kyotera.