Amawulire
Ekkanisa ya Uganda egenda kujaguza emyaka 60
Bya Benjmin Jumbe
Abakulembeze mu kkanisa ya Uganda, basabiddwa bafune ebyapa ku ttaka lye kanisa lyonna.
Okusaba kuno kukoleddwa, eyali Ssabaminisita we’gwanga John P Amama Mbabazi nga yasinzidde ku mukolo, ekkanisa kweyatongolezza ebikujjuko byokuweza emyaka 60.
Mbabazi nga yeyabadde omugenyi omukulu ku lutikko e Namirembe agambye nti obutabeera na byapa ku ttaka lyabwe, kibateeka mu kabi ettaka lye kkanisa okutwalibwa.
Ku mukolo guno, Ssabalabirizi we’kkanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu agambye nti engeri emu eyokumamamu ettaka kwekulikolerako, emirimu egireeta ensimbi.
Bingi ebitegekeddwa ebigenda okukulemberamu emikolo gyokuweza emyaka 60.