Amawulire
Ekkubo ly’omusalaaba baakuligoberera ku TV
Bya Benjamin Jumbe
Ekkanisa ya Uganda etegezezza nga buli kimu bwekitegekeddwa, okubeera n’ekkubo ly’omusalaba olunnaku lwenkya.
Wabula okwawukanako ku ntekateeka ezze eberawo, ku mulundi guno waliwo enjawulo, okulaba nga batangira abanatu oikukungaana awamu mu bungi, obutesiiga kirwadde kya ssenyiga omukambwe, COVID-19.
Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda, Kitaffe mu Katonda Dr. Samuel Kazimba Mugalu agambye nti bakwegatibwako Ssabasumba we Kampala owabakatuliki Dr. Cyprian Kizito Lwanga ne Metropolitan Yonah Lwanga owaba Orthodox okutambuza ekkubo lyomusalaba.
Agambye nti bakusimbula okuva e Namirembe, wabulanga ku luno abantu batono abagenda okukirizibwa okwetaba mu ntekateeka eno.