Amawulire
Sheikh Muzaata agugumbudde abatayagala kuwumula
Bya Prossy Kisakye, Omwogezi w’ekiwayi kya basiramu ab’e Kibuli sheikh Nuhu Muzaata asabye abakulembeze b’obusiramu abakuze mu myaka okutandika okulowooza ky’okuwumula
Muzaata agamba nti bamaseka bangi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo abakulilidde mu myaka wabula nga tebagala kulekulira bifo bwabwe bawumule balekele abalala okukulembera.
Ono agamba nti bano ne bwebatuuka nga tebakyasobola kutukkiriza buvunanyizibwa bwabwe olw’emyaka era balemerako
Muzaata awadde eky’okulabirako ekya bamaseka be bayita okukulemberamu okusaba ku mikolo ne batwala eddaaki eziwera nga basonda maanyi gayimirira okugenda mu maaso