Amawulire
Kabuyonjo mu Kampala zikyali zabbula.
Bya Samuel ssebuliba.
Ekibuga Kampala mubudde obw’emisana kibaamu abantu abasuka mu bukadde 3, wabula nga kabuyonjo ez’olukale mulimu 17 zokka
Kati kino tekikoma wano, nemumaka mwenyini olw’obufunda bwa poloti, abantu abasinga kabuyonjo balina zakugabana, songa abalala beyambira mu myala.
Abasinga kubantu betwogedeko nabo bagamba nti kaabuyonjo zakuwamma,era nga eno y’ensibuko yebirwadde nga embiro mu Kampala.
Kati bano bagamba nti kabuyonjo ez’olukale zigwana kwongerako.