Amawulire
Famile yo’mubaka Kyagulanyi ewadde gavumenti essaawa 48
Bya Dmalie Mukhaye
Family yomubaka wa Kyandondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu bawadde gavumenti ssalessale wa ssaawa 48 okubawa omuntu waabwe.
Bwabadde ayogera ne banwmulire mu Kampala, muganda womubaka ono amanyiddwa nga Bobi Wine nga ye Eddie Yawe agambye nti bali mu kutya, okutagambika, oluvanyuma lwokuwulira nti alabika agaliddwa mu mikono gyamagye.
Omubaka Kyagulanyi yoomu ku bagaliddwa, okuli nababak ba palamenti oluvanyuma lwakanyolagano akaali mu bitundu bye Arua, mu kufundikira campaign zomubaka wa munispaali eno omwafiridde nomuntu.
Bano bagambye nti okusiba omuntu waabwe okusukka essaawa 48 kunaaba kumenya maateeka.
Olukungaana lwabanamwulire luno, lwetabiddwamu ne mukyala womubaka Barbie Itungo.
Kati balabudde nti bwekitakolebwe, bakulangirira ekinaddako.