Amawulire
Balyeku ne Muhanga tebagenda kulabikako mu kkooti
Bya Ivan Ssenabulya
Okuwulira omusango oguwaknya etteeka eryokyokujja ekkomo ku myka gyomukulembeze we gwanga kuddamu nate olwaleero.
Okwawukana ku byabddewo olunnaku lwe ggulo, olwaleero abajulizi babiri, ababaka Moses Balyeku ne Margaret Muhanga bagenda kubuzibwa nga bayita ku mutimbagano mu ssekayunzi owa Skype nga kitegzeddwa nti tebali mu gwanga.
Kooti essubirwa okutandika ku ssaawa 4 ezenkya.
Olunnaku olwe ggulo abantu 8 bebalabiseeko okwabadde omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze, omuwandiisi we gwanika lye gwanga Keith Muhakanizi, akulira abakozi John Mitala, omuddumizi wa UPDF Gen David Muhoozi nabalala balabiseeko mu kkooti eno, okubuizbwa ku bujulizi bwabwe.