Amawulire
Poliisi ekutte Nandala Mafaabi
Bya Judith Atim
E Mbale poliisi ekubye amasasi mu bbanga nomukka ogubalagala, webadde egumbulula abawkanya okutigtiga mu ssemateeka, okujjawo ekkomo ku myaka gyomukulembeze.
Omusasi waffe Judith Atim, atubuliidde nti bano babadde bakulembeddwamu ssabawandiisi wekibiina kya FDC, omubaka wa Budadiri, Nandala Mafaabi okutambula mu kibuga kye Mbale.
Kitegezeddwa nti bano babadde bayitako mu bantu nga betegekera olukungaana lwabwe olwenkya.
Wabula poliisi ebaguddemu okubasattulula nekozesa nomukka ogubalagala.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Bukedi Manisour Sowedi ategezezza oluvanyuma, nti omubaka Nandala Mafaabi nabantu abalala babiri bakwatiddwa era bakumibwa ku poliisi ye Mable.