Amawulire

Omwana Asse Kitaawe lwa Ttaka

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2017

No comments

MITYANA

Bya Shamim Nateebwa

Omwana asse kitaawe lwa nkyana za ttaka.

Henry Lukenge ow’e Kikindu mu ggombolola y’e Ssingo mu disitulikiti y’e Mityana atemye kitaawe, Lawrance Walugondo myaka 60.

Kikigambibwa nti, Walugondo aludde ng’agugulana ne Lukenge ku nsonga z’ettaka lino kyokka bulijjo ensonga bazimalira mu kakiiko ka LC I.

Ku mulungi guno, Lukenge yalumbye kitaawe ng’abagalidde ejjambiya mu kirombe gy’akubira amatoffaali.

Lukenge yasabye kitaawe olukoba n’alumumma, kwe kumutemaatema ku mutwe, amagulu n’emikono.

Abatuuze baamutaayizza kyokka nabo n’abaleegamu ejjambiya.

Baakubidde poliisi y’e Mityana n’amukwata.

Ono basoose kumutwala mu ddwaaliro e Mityana kyokka oluvannyuma baamusindiuse  e Mulago gyalimukujanjabibwa wabula nga embeera mbu nyo.