Amawulire

Ssabasajja asiimye Ssebaana

Ali Mivule

July 5th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka  bwa Buganda  bwa kukungubagira Owek. Ssebaana mu ngeri  ey’enjawulo mu lutuula lw’olukiiko ku Lwokusooka lwa wiiki ejja nga 17/7/2017.

Mukiwandiiko ekifulumizidwa kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bebaziza  omugenzi olw’obuwereeza eri Ssaabasajja Kabaka ne Buganda yonna okutwalira awamu.

Bendera z’obwakabaka  nazo zijja kwewuubira mu makkati g’emirongooti ku lunaku lw’anaaziikibwa- ku Lwomukaaga 8/7/2017 mu Buganda wonna.

Mungeri yemu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye n’ayimirizza omupiira ogw’empaka z’ebika ogubadde gugenda okuggulwawo ku Lwomukaaga nga 8/7/2017 nga kati guzziddwa ku lwa Ssande 9/7/2017 ku kisaawe e Nakisunga- Kyaggwe.